Liiso lya mukulu - Sekasi Fredrick

Seller: God's mercy bookshop |
Reviews (0)
 0  1  2.3k
USh 15,000
In Stock
lug011
GMBookshop
  Same day
  Estimated Delivery:
 
Share: 

Sekasi Fredrick omuwandiisi w'ekitabo kino Liiso lya Mukulu ekitabo ky'ebitontome azaalibwa Kitimbwa mu Bugerere mu dditilikiti y' e Kayunga. Azaalibwa Nguli Yisirayiri Ntege Kaddu n'omukyala Maria Assumpta Nabbosa.

Yasomera Kayunga Mixed Primary School, Kawuku Boading Primary School Ndeeba Primary School ne Kasubi C/U Primary school gye yakolera ebigezo bya Primary Leaving Examinations mu 1987. Eno gye yava ne yeegatta ku Mengo Senior School okuva mu 1988 okutuuka mu 1994. Oluvannyuma yeegatta ku ttendekero ly'abasomesa e Mubende eryatwalibwanga Institute of Teacher Education Kyambogo katu Kyambogo University gye yakugukira mu busomesa bwa ssekendule era yavaayo awangudde Diploma mu Education (Secondary). Oluvannyuma yeegatta ku Makerere University gye yafunira ddiguli mu Community Psychology.

Anyumira nnyo okusomesa naddala olulimi Oluganda nebyafaayo.

Ekitabo LIISO LYA MUKULU kirungi nnyo eri abantu abakulu n' abato abanyumirwa olulimi Iwabwe oluzaaliranwa ate olusinga endala zonna Olunganda. Ekitabo kifumbekeddemu ebyokuyiga nkuyanja era kisobola bulungi okutebenkenza abantu abakulu n'abato. Ebitontome bisengekeddwa mu ngeri ey'ekikugu ennyo era ng'a byesigamizibwa ku egyo ebigobererwa mu kutontoma.

Sekasi Fredrick

Gayaza Kyaddondo

Author Sekasi Fredrick
Shipping Cost
Shipping Same day
Product Location Gods Mercy Bookshop, New Taxi Park, Shop 674, Central Region, Uganda

No reviews found.

No comments found for this product. Be the first to comment!

Join our YouTube community @GMBookshop for daily book reviews

Join our YouTube community @GMBookshop for daily book reviews