Awo olwatuuka by Ddamba andrew Kibuuka.
EBIFA KUMUWANDIISI
Ddamba Andrew Kibuuka Ssekanyumiza: ye mutabani w'omubuze Kanyike Lawrence. Muzzukulu wa Kabonge Atanansi, agalamidde e Makaayi Bulemeezi, muzzukulu wa Ssaalongo Kayizzi George William agalamidde e Segalye muzzukulu wa Kisuze e Makaayi, nmuzzukulu wa Kaye Hannington e Singo; ava mu kigango kya Kirulu e Bwerenga mu Busiro. Nnyina mukyala wa Lugave ye Mukyala Nnavvugga Margret Kigongo Katongole. Ddamba Andrew Kibuuka yasomera Kisubi Boys Primary School, eyo gye yava ne yeegatta ku Kololo S.S.S ne Pride Academy. Obusomesa ya busomera NTC Nkozi, Makeerere University. Yaakamala okwewangulira Masters Degree mu Education Management and Leadership mu WALSH University Ohio USA. Ddamba Andrew Kibuuka azanyiddeko mu bibiina ebiwera omuli Bakayimbira Dramactors, The Scavergers, The Presenters eky'abakozi ba CBS Radio era y'omu ku baatandika Standing Comedy mu Uganda gwe baayita; Kuginika Buginisi( Mannyo ku ngulu) mu Pride Theatre. Era y'omu ku ba Directors ba Kids Uganda: ekitongole ky'abaana ekirina ekiruubirirwa eky'okwagazisa abaana abato katemba ali ku nnono era alimu eby'amagezi ebisaanira abaana abato okusinga okwesiba ku by'Abazungu.
Shipping Cost |
|
Product Location | GODS MERCY BOOKSHOP, New taxipark, Freeman building, Shop 674, Central Region, Uganda |
No reviews found.
No comments found for this product. Be the first to comment!