EBIFA KU MUWANDIISI
Ddamba Andrew Kibuuka Ssekanyumiza: ye mutabani w'omubuze Kanyike Lawrence. Muzzukulu wa Kabonge Atanansi, agalamidde e Makaayi Bule-meezi, muzukulu wa Ssaalongo Ksyizzi George Willian agalamidde e Sega-lye muzukylu wa Kisuze e Makaayi, muzukulu wa Kaye Hannington e Singo, ava mu Kigango kya Kirulu e Bwerenga mu Busiro. Nnyina mukyala wa Lugave ye Mukyala Nnavugga Margret Kigongo Katongole.
Ddamba Andrew Kibuuka yasomera Kisubi Boys Primary School eyo gye yava ne yegatta ku Kololo S.S.S ne Pride Acsdemy. Nga ali Kololo S.S.S. yafuna omwoyo oguzannya katemba era bw'atyo yeegatta ku Kololo Drama Group era naba omu kubaazannya omuzannyo: The Hydra: ogwali ku kukul-wanyisa obulwadde bwa HIV/AIDS mu biseera ebyo. Ng'ali ku Pride Academy essomero lya Bakayimbira Dramactors yegatta ku Bakayimbira Dramactors n'azannya emizannyo, omwali: Mirembe, Omunaala n'Olusozi lwa Batulege.
Bwe yava ku Pride Academy, n'agenda mu NTC Nkozi okusoma obusomesa naye nga katemba tamuleseeyo. E Nkozi gye yava okwegatta ku Makerere University okusoma Degree mu busomesa. Alina Masters Degree mu Educa-tion Management and Leadership mu WALSH University Ohio USA. Nga Kati asoma PHD mu Makerere University
Ddamba Andrew Kibuuka azanyiddeko mu bibiina ebiwera omuli Bakay-imbira Dramactors, The Scavergers, The Presenters eky'abakozi ba CBS Radio era y'omu ku baatandika Standing Comedy mu Uganda gwe baayita; Kuginika Buginisi(Mannyo ku ngulu) mu Pride Theatre.
Ddamba Andrew Kibuuka musomesa wa basomesa mu NTC Mubende era y'omu ku ba Directors ba Kids Uganda: ekitongole ky'abaana ekirina ekiruubirirwa eky okwagazisa abaana abato katemba ali ku nnono era alimu eby'amagezi ebisaanira abaana abato okusinga okwesiba ku bya bazuungu.
Awandiise emizannyo mingi omuli Buzibye butya?, The next step, Sour challenges, Awo Olwatuuka, Akalaaca mu Kkoti y'ekyalo, Jjegeju: "Sweet Enemy" ne Khoisan and Bantu, History and Political Education, n'emirala mingi. Amanyiddwa nnyo nga Ssekanyumiza olwa program ya Awo Olwatuuka eyaganja ennyo ku WBS TV, Bukedde TV ne BBS Terefayina. Omuzannyo OMWOLEKO GWOMUGANDA N'OBUWANGWA guwandiikiddwa
okuba omwoleka n'entaputa y'essomo ly Oluganda mu Curriculum ennon-gooseemu.
| Author | Ddamba Andrew Kibuuka |
| Shipping Cost |
|
| Shipping | Same day |
| Product Location | Gods Mercy Bookshop, New Taxi Park, Shop 674, Central Region, Uganda |
No reviews found.
English
French
German
Russian
中文

No comments found for this product. Be the first to comment!