EBIFA KU MUWANDIISI
Ddamba Andrew Kibuuka Ssekanyumiza: ye mutabani w'omubuze Kanyike Lawrence. Muzzukulu wa Kabonge Atanansi, agalamidde e Makaayi Bulemeezi, muzzukulu wa Ssaalongo Kayizzi George William agalamidde e Segalye muzzukulu wa Kisuze e Makaayi, muzzukulu wa Kaye Hannington e Singo; ava mu kigango kya Kirulu e Bwerenga mu Busiro. Nnyina mukyala wa Lugave ye Mukyala Nnavvugga Margret Kigongo Katongole.
Ddamba Andrew Kibuuka yasomera Kisubi Boys Primary School, Kololo S.S.S ne Pride Academy. Obusomesa ya busomera NTC Nkozi, Makeerere University. Nga kati y'akamaliriza okuwangula Masters Degree mu Education Management and Leadership mu WALSH University Ohio USA.
Ddamba Andrew Kibuuka azanyiddeko mu bibiina ebiwera omuli Bakayimbira Dramactors, The Scavengers, The Presenters eky'aba-kozi ba CBS Radio era y'omu ku baatandika Standing Comedy mu Uganda gwe baayita; Kuginika Buginisi( Mannyo kungulu) mu Pride Theatre. Era y'omu ku ba Directors ba Kids Uganda: ekitongole ky'abaana ekirina ekiruubirirwa eky'okwagazisa abaa-na abato katemba ali ku nnono era alimu eby'amagezi ebisaanira abaana abato okusinga okwesiba ku by Abazungu.
| Author | Ddamba Andrew Kibuuka |
| Shipping Cost |
|
| Shipping | Same day |
| Product Location | Gods Mercy Bookshop, New Taxi Park, Shop 674, Central Region, Uganda |
No reviews found.
English
French
German
Russian
中文

No comments found for this product. Be the first to comment!