Gwolulabuza by Ssemwanga kivumbi Bantubalamu

Commentaires (0)
1 1 15.9k
USh 20,000 USh 20,000
-14%
En stock
SKU-GIK1E102C4
GMB
  Estimated Delivery:
 
Partager: 

GWOLULABUZA

Ssemwanga Kivumbi Bantubalamu Ndyanabassi yemutabani avec Ssemwanga Kiwanuka, agalamidde et Mbalwa Namugongo mu Kyaddondo. Muzzukulu wa Dkt Charles Lutaaya Bantubalamuu agalamiddee Mbalwa ye ddira nnonge muzzukulu wa Kisolo. Nnyina ye Nnaalongo Tereza Nakabugo muwala wWomugenzi Dkt Paul Kiggundu Musooliini agalamidde et Nakiyanja Namugongo. Omuwandiisi yaso mera Namugongo Boys, Bweyogerere C/U, KiraS.S, St.Francis S.Sne NCBS Yasomesaako olulimi Olugandae Kira SS, Kireka High, Clive College, Kalinaabiri PS, Naalya SS, Yale Highe Natteta mu Bugerere, n'abuwumulira ku Progressive SS Bweyogerere mu 2004 Muwandiisi mu katabo Entanda ya Buganda, yaliko omusoyissoyi ku CBS, y'omu ku bakozi abaatandika Star Fm gyeyakolako emyaka egisoba mu munaana nga yeyatandika okusomesa olulimi Oluganda n'okusomesa abasamize buli lwa Ssabbiti mu Program Ekinnonnoggo kati gyeyazza ku Metro FM . Kivumbi ye muwandiisi w'ebitabo bino wammanga.

1. Ebitontome eby'ensibo

2. Entendeka ya Lubaale ow'ennono

3. Ensiba y'Abalongo ab'ennono

4. Ensalira n'ennyingiza ya Lubaale

5. Abantubalamu kkoyi

6. Muvubuka atanyumya

7. Ssekabaka MuteesalI eyeerabirwwa

8. Abalongo b'Emisambwa Abazaale.

Gw'olulambuza, lugero olutottola Omulongo eyazaalibwa ne ttimba bakaddebe ne basooka bamwegaana, mu bulwadde obwabaluma bakkiriza nti abaana baabwe bwoya. Yakozesa amagezi n'amaanyi ge okwekulaakulanya naye ng'abamulaba kibayisa bubi, omwali okuttibwa kwa baanabe, eddogo, n'okwefuulirwa munne mu busuubuzi. Kitanmbulira ku bwenzi nettemu ebiri munsi ng'ebimu tubyetuusaako olw'obutafuga busungu. Era olugero luno lutulaga émettendera ne mikolo gy'obuwangwa. Livres graphiques

Frais de port
Product Location GODS MERCY BOOKSHOP, New taxipark, Freeman building, Shop 674, Central Region, Uganda

Aucun avis trouvé!

  • Nantume Anna

    Nantume Anna

    Lwaki temuli nsonga,miramwa ,byabuwangwa n'eby'okuyiga ku mukutu oba WEB SITE y'olugero gw'olulambuza
    10 il y a des mois

If you love literature books, stories & novel recommendations, join us on YouTube @GMBookshop

If you love literature books, stories & novel recommendations, join us on YouTube @GMBookshop