EBIKWATA KU KITABO
Omuwandiisi atuwandiikidde ekitabo kino eky'ebitontome ky'atuumye 'Omulyammere Kkoyi' mw'atadde ebitontome ebikwata ku bintu eby'enjawulo. Mu kukola kino yeefumiitiriza ku bintu ebiwerako naddala ebyo by'awandilseeko, era ekyo bw'akimaze n'alyoka awumbawumba by'awandiise ng'atumatiza nti ddala omulyammere kkoyi! Ekigambo kkoyi omuwandiisi talina w'akinyonnyolera mu kitabo kino naye nga mazima ddala akiragidde mu bitontome ebiwerako. Noolwekyo, mulimu gwo ggwe asoma ebitontome bino okunokolayo n'okulambulula obwa kkoyi bw'omulyammere mwe bweyolekera. Talaze makulu g'ekigambo Kkoyi, naye singa weefumiitiriza ku bintu eby'enjawulo ebyogerwa ku mulyammere, osobola bulungi okutuuka ku makulu g'ekigambo ekyo. Mukuwandiika ebitontome bino, omuwandiisi agezezzaako nga bw'asobola okugoberera ebintu ebiwerako ebisobozesa okutontoma obulungi. Noolwekyo, ggwe omusomi w'ekitabo kino osaana okufaayo ennyo ku bintu ebyey ebyeyambisiddwa okusobozesa entontoma eggyayo entunnunsi za buli kitontome. Ebintu ebyo bingiko gamba nga mu bitontome we yeewalidde mu bugenderevu okukozesa empandiika y'Oluganda entongole ne yeeyambisa olukusa Iw'omutontomi. Waliwo n'ebintu ebirala ebiwerako ggwe omusomi by'oyinza okugenda ng'onokolayo era n'obinyonnyolako bulungi nga bw'obikkaatiriza n'ebyokulabirakookuva mubitontome eby'enjawulo.
Frais de port |
|
Product Location | GODS MERCY BOOKSHOP, New taxipark, Freeman building, Shop 674, Central Region, Uganda |
Aucun avis trouvé!
Aucun commentaire trouvé pour ce produit. Soyez le premier à commenter!